Numbers 34:2-12

2 a“Lagira abaana ba Isirayiri ng’obagamba nti, ‘Bwe muyingiranga mu Kanani, gye mbawa okuba ensi yammwe ey’obutaka bwammwe obw’enkalakkalira, zino ze ziribeera ensalo zaayo:

3 b“ ‘Ku bukiikaddyo, ensalo yammwe erizingiramu Eddungu lya Zini n’ekibira ku mabbali ga Edomu. Ku luuyi lw’ebuvanjuba, ensalo yammwe ey’oku bukiikaddyo eritandikira ku Nnyanja ey’Omunnyo w’ekoma ku luuyi olw’ebuvanjuba, 4 cn’eyambukira ku Kkubo lya Akulabbimu, n’eraga ku Zini n’ekoma ku bukiikaddyo obwa Kadesubanea. Eriraga e Kazala Dali n’etuuka e Yazimoni, 5 dawo w’eriwetera n’egenda ku mugga Wadi ogw’e Misiri n’ekoma ku Nnyanja Ennene.
6Ku ludda olw’ebugwanjuba, olubalama lw’Ennyanja Ennene lwe lulibeera ensalo yammwe. Eyo y’eriba ensalo yammwe ey’ebugwanjuba.
7 eKu ludda olw’obukiikakkono, ensalo yammwe egenda kuva ku Nnyanja Ennene erage ku Lusozi Koola; 8 feve e Koola erage w’oyingirira Kamasi. Ensalo olwo eriraga e Zedada, 9ne yeeyongerayo okutuuka e Zifuloni, n’ekoma mu Kazalenooni. Eyo y’eriba ensalo yammwe ey’oku bukiikakkono.
10Ensalo yammwe ey’ebuvanjuba erigoberera olunyiriri oluva e Kazalenooni okutuuka e Sefamu. 11 gEnsalo n’eserengeta okuva e Sefamu okutuuka e Libula ku ludda olw’ebuvanjuba bwa Yaini, n’ebalama amabbali g’ensozi ku ludda olw’ebuvanjuba bw’Ennyanja y’e Kinneresi, y’ey’e Ggaliraaya. 12Olwo ensalo n’egendera ku mugga Yoludaani n’ekoma ku Nnyanja ey’Omunnyo.

“ ‘Eyo y’eribeera ensi yammwe, n’ezo nga ze nsalo zaayo ku buli luuyi.’ ”
Copyright information for LugEEEE